by'abaganda n'ensonga eziviiriddeko kino
-
Upload
khangminh22 -
Category
Documents
-
view
0 -
download
0
Transcript of by'abaganda n'ensonga eziviiriddeko kino
KAMPALA INTERNATIONAL UNIVERSITY
OKWEKENNENYA ENKYUKAKYUKA MU BYOBUWANGWA
BY’ABAGANDA N’ENSONGA EZIVIIRIDDEKO KINO
NAKIGANDA FLAVIA KIVUMBI
BAE/44612/1431DU
“ALIPOOTA Y’OKUNOONYEREZA OLW’OKUTUUKIRIZA EBISAANYIZO
EBY’OKUFUNA DDIGULI MU BY’ENJIGIRIZA MU KAMPALA
INTERNATIONAL UNIVERSITY”
OMULUIJIJAMYA
0MW. MATOVU CHARLES
MUWAKANYA 2017
EBIRIMU
OKUKAKASA OBUSOOSI. V
OKUKAKASA KW’OMULUijijAMYA vi
OKUWONGA VU
OKWEBAZA VIII
OKUNOONYEREZA MU BUFUNZE ix
ESSUULA ESOOKA 1
OBUVO 1
ENI’JYANJULA 1
OKWANJULA EKIZIBU 3
OMUGASO GW’OKUNOONYEREZA 3
EBIGENDERERWA BYOKUNONYEREZA 4
OBUKULU BW’OKUNOONYEREZA 4
OBUGAZI BW’OKUNOONYEREZA 4
OKWEKENNEENYA EBIWANDIIKO 6
ENNYAJULA 6
BUGANDA N’EBYOBUWANGWA 6
ENKYUKAKYUKA MU BYOBUWANGWA BY’ABAGANDA 9
ENSONGA EZTVIIRIDDEKO ENKYUKAKYUKA ZINO MU BYOBUWANGWABY’ABAGANDA 11
EBIBUUZO BY’OKUNOONYEREZA 12
ESSUULA EY’OKUSATU 13
OLUWENDA LW’OKUNOONYEREZA 13
ENNYANJULA 13
ENTEGEKA Y’OKUJ~1OONYEREZA 13
EBIFO N’EBIBLNJA BY’ABANTU 13
EBYEYAMBISIBWA 14
OBUTUUKTRIVU N’OBWESIGE BW’EBINTU EBYEYAMBISIBWA MUKUNOONYEREZA 14
OKWEKENNEENYA EBYAZUULIBWA 14
EBIZIBUEBY’AMUTUUKAKO .15
ENGERI GY EYABIVVUNUKAMU 15
Entekateeka N’ engabanya Y’ obudde 16
Embalirira Y’ensimbi 16
ESSUULA EY’OKUNA 17
OKWANJULA N’OKUKWATAGANYA EBYAZUULIBWA 17
EN1~YANJULA 17
OBUYIGIRJZEBWANGE BWA 17
Maze Wakati W’emyaka. . . .Ng’ansomesa 18
Ebyobuwangwa kye ki~ 18
Birina Mugaso Ki Mu Ggwanga9 19
WALIWO ENKYUKAKYTJKA YONNA MUBYOBUWANGWA B1NO 19
OLULIMI OLUGANDA, ENYAMBALAN’EBYOBUWANGWA2 19
BWE KIBA YEE LAGA ENKYUKAKYUKA ZNO 20
OLULIMI OLUGANDA 20
ENNYAMBALA 21
EBY’OBUFUMBO 21
BIZIBU KI BYE TUSANGA MU NKYUKAKYUKAZfNO~ 22
BIRUNGI KI EBIRI MU NKYUKAKYUKA EZO~ 22
NSONGA KI EZIRESEEWO ENKYUKAKYUKA ZINO~ 23
BWE KIBA NEDDA KAKASA NTJ TEWALI NKYUKAKYUKA YONNA 24
OLULIMI OLUGANDA 24
ENNYAMBALA 24
EBY’OBUFUMBO 24
MPANDA KI EZIYTNZA OKUTEMWA OKUSOBOLA OKUTAASAEBYOBUWANGWA BY’ABAGANDA OBUTASAANAWO~ 25
OLI MU KIBIINA KYA KUMEKA~ 25
EMYAKA NINA 26
WATANDIKA DDI OKUSOMA OLUGANDA 26
ANI YAKUSIKIRIZA OKUSOMA OLUGANDA 27
III
ESSUULA EY’OKUTAANO .28
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO, OKUWEERERA N’OKUFUNDIKIRAOKUKUBAGANYA EBIROWOOZO 28
ENNYANJURA 28
WALIWO ENKYUKAKYUKA EZIZEEWO MU BYOBUWANGWABY’ABAGANDA~ 28
EZIMU KU NKYUKAKYUKA ZE BAAWA MWE MWALI ZINO; 29
WALIWO ENSONGA EZIVITRIDDEKO ENKYUKAKYUKA ZINO MUBYOBUWANGWA BY’ABAGANDA~ 30
WALIWO EMPENDA EZISOBOLA OKUTEMWA OKUSOBOLA OKUTANGIRAENKYUKAKYUKA ZINO~ 31
OKUWEERA 31
OKUFUNDIKIRA 32
EBIJULIDDWA 32
EBIBUUZO ERI ABAYIZI 36
iv
OKUKAKASA OBUSOOSI
Nze NAKIGANDA FLAVIA KIVUMBI nkakasa nti omulimu oguli mu kitabo kino
guvudde mu ntuuyo zange nga nnyambibwako omuluijijamya wange era
tegukolebwangako muntu mulala yenna kufuna ddiguli okuva mu Ssetendekero yonna.
Omukono
NAKIGANDA FLAVIA KJVUMBI
Ennakuz’omwezi
OKUKAKASA KW’OMULUIJ 1J AMYA
Nkakasa nti nze mbadde omuluggamya w’okunoonyereza Kwa NAKIGANDA FLAVIA
KlVUMBlokwakolebwa wansi w’ omutwe”OKWEKENNEENYA
ENKYUKAKYUKA MU BYOBUWANGWA BY’ABAGANDA N’ENSONGA
EZIVIIRIDDEKO KINO” kuwedde bulungi era alipoota etuuse okuwebwayo mu
kitongole kya “ARTS AND LANGUAGES”mu KAMPALA INTERNATIONAL
UNIVERSITY
VA,Omukono
MATOVU CHARLES
OMULU1JIJAMYA
~—)c~~--c?~_ 1ENNAKU Z’OMWEZI.. .“~
OKUWONGA
Mpaayo okuwonga kwange en jjajja Nnaalongo Ssesiria Nanteza.Ornusingi gwe wasima
gwali mugumu era gwe guntuusiza ku ddaala lino. Omulimu guno nguwaayo gy’oli nga
nkwebaza olw’okunkuza obulungi ate n’okumbuulirira.
VII
OKWEBAZA
Ntwala omukisa guno okwebaza abantu bano , olw’okunnyamba mu kusoma kwange era
huh omu w’aggye,lugaba amuddizeewo.Nsooka okwebaza katonda atuwadde obulamu
okusobola okutuukiriza bye tusobodde okutuukiriza. Nzizaako JJAJJA NNAALONGO
SSESIRIA NANTEZA okwerekereza byonna kko n’okunsabira obutakoowa era
n’okumbuulirira mu huh mbeera yonna. Nsaba oyo awanirira eggulu okutali mpagi
akuwanirire ppaka nga tukukuhirira ku kahiba.Nneebaza omubiikira Sister Mary Aluma
Nakanwagi (Nsambya Kevina) olw’okutulaga ekitangaala ekitusoobozeseza okutuuka ku
buwanguzi.Nzizaako mikwano gyange Nakijoba Caroline, Ssemanda Alaphat ne Nantale
Florence. Mumbeereddewo nnyo naddala ku nsonga y’oluhimi oluganda.Nzizaako
abasomesa abaansomesa olulimi oluganda ku ddaala lya nsenvuddeko; omwami mukasa
sebide Ssemakula Steven ne John Weeraga (eddagala lya jjajja ku Bukedde T.V)
mwebale kunjagazisa luhimi era omuhimu mugutwalire ddala mu maaso nga bugolo.Mu
buufu bwe bumu njagala okwebaza abasomesa bange ku ssetendekero olw’omulimu
amatendo ogunkoleddwaamu kubanga neeyongedde nnyo okukakata mu lulimi oluganda.
Omwami matovu Charles, Dr. Nabiccu Sarah wamma nsiimye bwongerwa ensekere
esiima mu nkutu era ku bye mukoze nkakasa nti ennono yaffe tesobola kuzaawa.Sisobola
kwerabira omukyala Gwokyalya Edith (maama waffe mu byenjigiriza). Nnyabo weebale
kukkiriza n’otuzaala yadde nga twajja tuhi bakulu naye wakkiriza okutuzaala mu ngeri
yonna, mukama akuddizeewo era akusasule musera.Mu ngeri eyenjawulo, era bano
okubasembyayo kabadde kakodyo.Omwami Dr. Mpora Enos n’omukyala Lydia Mpora
mwe sibeebazizza wabula naamye bulaami. Kizibu nnyo mu nsi eno ejjudde abantu
abalina emitima egy’enjaba ate abatayagahiza, okusanga abantu abalinga mmwe
mbeebaza okundaga ekitangaala ate n’okunjagahiza byona buli muzadde bye
yandiyagalizza omwanawe. Oyohiisoddene abankuumire era muwangaale emyaka
bufukunya.
VIII
OKUNOONYEREZA MU BUFUNZE
Okunnoonyereza kwagenderera okwekenneenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
by’ Abaganda n’ ensonga eziviiriddeko kino.
OKUNOONYEREZA KWESIGAMIZIBWA KU BIGENDERERWA BINO
WAMMANGA.
o Okuzuula enkyukakyuka ezizeewo mu byobuwangwa by’Abaganda.
o Okuzuula ensonga eziviiriddeko enkyukakyuka zino mu byobuwangwa
by’Abaganda.
o Okuzuula empenda eziyinza okutemwa okusobola okutaakiriza ebyobuwangwa
by’ Abaganda.
Omunoonyerezayeesigama ku bayizi n’abasomesa mu masomero omuli Ggaba mixed
high school, Kansanga s.s ne model high school era yeeyambisa ebibuuzo
eby’okumumwa n’ebiri mu kyapa.
Buganda eze erwana okusigaza saako n’okukuuma ebyobuwangwa byayo.
Bingi bikoleddwa omuli okutegeka emisomo, okuzaawo ebisakaate, okuwandiika
ebyobuwangwa n’okubuulirirwa newankubadde nga guli gutyo ebyobuwangwa bingi
bizeemu enkyukakyuka era ebimu bisasise.
N’olwekyo obweralikirivu bungi nnyo mu Buganda, eno y’ensonga iwaki
omunoonyereza yasalawo okukola okunoonyereza kuno asobole okwekenneenya
enkyukakyuka mu byobuwangwa by’A baganda n’ensonga eziviiriddeko kino.
Kino kyamusobozesa okutema empenda.
ix
ESSUULA ESOOKA
OBUVO
ENNYANJULA
Ebyobuwangwa kitegeeza ennono, emirimu ssaako n’obulomolombo, era kino kikolebwa
abantu abali mu kifo ekimu. (Mukwaya, 2004)
Ebyobuwangwa kiyinza okutegeeza empisa z’abantu abali awamu ezeeyolekera mu
ndowooza, ebisiige, emirimu n’enzikiriza ssaako ne mu bitongole eby’enjawulo (mutebi,
2004).
Ebyobuwangwa era kitegeeza amateeka agagobererwa abantu era mwe tumanyira
enjawulo eziri mu bantu (Julia, 1997) era amateeka gano geeyolekera mu nnyimba,
ebitontome, ebisiige, amazina n’enzikiriza (wright, 1949)
Mu Africa obwakabaka bungi buzze buvaawo era obukyaliwo bukyalwana buzizingirire
okulaba nga bukuuma obuwangwa n’ennono ne wankubade ngenkyukakyuka eyamaanyi
ezzeewo (gadaa, 1988).
Ebyobuwangwa ebisinga obungi bizze nnyo emabega olwensonga eziwerera ddala. Muno
mulimu entalo ezireetedde amawanga ag’enjawulo okwetabikatabika, nga ganoonya
obubudamo, era ebintu nga amasabo byonooneka okwo gattako enzikiriza empya
ezimeruka buli kadde (Bartels, 19834), ezireetedde abantu abasinga okusuulawo
ebyobuwangwa byabwe.
Buli ggwanga lirina ebyobuwangwa byalyo anti n’enjogera y’Abaganda ogiwulira nti buli
ggwanga n’ebyalyo.Abantu beggwanga eryo benyumiriza nnyo mu byo buwangwa
byabwe era babeera beetegefu okubirwanirira, kabekasinge nokubifiiririra.Bwe batabeera
beetegefu kuiwanirira byabuwangwa byabwe, ebyobuwangwa ebyo tebisobola
kuwangaala, obudde bwonna bifa ne biggweerawo ddala.
Abo abafubye okubisaamu ekitiibwa bagezaako bugeza era abangi bagattise
ebyobuwangwa byaffe bebyabagwira.
Africa efubye okukuuma ebyobuwangwa ng’eyita mu lulimi lunnabantu olwefuze
amasekkati, amambuka, amaserengeta, obukiikakkono ne ddyo bw’Africa (Melbaa, 1988)
1
okugeza eromo lye lirnu ku mawanga agasangibwa mu mambuka ga Africa eryeyagalira
ennyo mu byobuwangwa byalyo, newankubadde ngobufuge bubadde bungi nnyo,
(Melba, 1998).
Abaganda ne Buganda okutwalira awamu teyawukana nnyo n’eggwanga erome mu
kwagala ebyobuwangwa byayo newankubadde ekyalina okusomoozebwa okwamaanyi
mu kubyagazisa abantu bonna (Bukedde olupapula 2004).
Bangi ebyobuwangwa babyettanidde nga bayita mu kusomesebwa okwatandika nga
n’ okuwandiika tekunnabaawo (mulika, 2006).Ngokuwandiika kuzze abaganda
baakwettanira nnyo, (walusimbi, 2006) era eyamulisa omulimu yali sir Apollo kaggwa,
eyatandikira ddala okuwandiika ebyobuwangwa. Naye oluvannyuma amasomero bwe
gaazimbibwa mu Buganda omwali buddo kings college, Namagunga, Namugongo,
Nabisunsa, namalala olulimi olungereza iwefuga byonna ebyali bisomesebwa
(walusimbi, 2000).
Wabula mpola mpola olulimi oluganda ng’ekyobuwangwa lwajja luyingizibwa mu
masomero era nga iwatandika okusomesebwa mu myaka gya (1950.s) bwe lutyo
lwayingizibwa mu Juniour Sekendule esooka neyookunna era iwagenda lukuzibwa nga
lusomesebwa mu masomero nga Buddo, Kisubi, Namugongo (Ssekamwa, 1997).
Mu matendekero amakulu, olulimi oluganda iwatandikira mu Makerere university wansi
wa bbendera ya Prof. Walusimbi eyalwana ennyo ngayambibwako Nsimbi (Nsimbi,
2006, 2006) era nga Iwatandika nabayizi 15. Naye we twogerera bino byonna, olulimi
oluganda iwe lumu ku nnimi zinnabantu ezikyasinze okwogerwa mu bukiika kkono
bw’Africa anti ebitundu ana (40%) ku buli kikumi mu yuganda balutegeera (kirwana
ssozi, 2002) era nga lusomesebwa mu masomero agawerera ddala (Prof. Walusimbi,
2003).
Okuva olwo Buganda ezze erwana okusigaza ssaako n’okukuuma obyobuwangwa byayo
(Daniel Muliika, 2006) era bingi ebikoleddwa omuli okutegeka emisomo, okuzaawo
ebisakaate (maama Nnaabagereka, 2007) okuwandiika ebyobuwangwa Ssaako
n’okubuulirira abaana (kirwana ssozi, 2004).
2
Newankubadde nga guli gutyo ebyobuwangwa byAbaganda bingi bizeemu
emkyukakyuka era n’ebimu bisasise. Muno mulimu ebitakyakolebwa ku mulembe guno
okugeza okutta omukago,n’okwalula abaanal abalongo, okukomaga, okuyigga n’ebirala.
Era nga mwe muli n’ebyo ebigendera ku mulembe guno okugeza ennyambala ey’obukete
kumpi kuyitira ddala bwereere, olulimi olutabinkirize, ssaako n’ okufumbiriganwa
n’abamawanga amalala (kirwana ssozi, 2000).
N’olwekyo obweralikirivu bungi nnyo mu Buganda.Eno y’ensonga iwaki omunoonyereza
yasalawo okukola okunoonyereza kuno asobole okwekenneenya enkyukakyuka mu
byobuwangwa by’Abagandan’esonga eziviiriddeko kino .kimusobozese okutema
empenda.
OKWANJULA EKIZIBU
Olulimi oluganda ngekyobuwangwa ssaako n’ebyobuwangwa ebirala omuli embaga,
okulima, okulunda, okukomaga bizze bisomesebwa mu masomero agawerako (kirwana
ssozi, 2000) okumala ebbanga eriwerako.Okuva olwo Buganda ezze erwana okusigaza
ssaako n’okukuuma ebyobuwangwa byayo (Muliika Daniel).Bingi bikoleddwa omuli
okutegeka emisomo, okuzaawo ebisakaate (Maama Nnaabagereka 2007) okuwandiika
ebyobuwangwa ssaako nokubuulirira abaana (kirwana ssozi 2004). Newankubadde nga
guli gutyo ebyobuwangwa by~Abaganda bingi bizeemu enkyukakyuka era nebimu
bisasise. N’olwekyo obweralikirivu bungi nnyo mu Baganda.
Eno ytensonga iwaki omunoonyereza yasalawo okukola okunoonyereza kuno asobole
okwekermeenya enkyukakyyuka mu byobuwangwa by’Abaganda nensonga eziviiriddeko
kino, kimusobozese okutema empenda ez’okuzzaawo ebyobuwangwa bireme kuzikirira
mu Baganda.
OMUGASO GWOKUNOONYEREZA
Omugaso gw’ okunoonyereza kuno kwe kwekenneenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
byAbaganda n’ensonga eziviiriddeko kino, kisobozese bonna be kikwatako mu ggwanga
okukola kyonna ekisoboka okumalawo obuzibu buno n’okutangira enkyukayuka zino
ssaako n’ okukuuma ebyobuwangwa n’ennono.
3
EBIGENDERERWA BY’OKUNONYEREZA
Okunoonyereza kwesigamizibwa ku bigendererwa bino wammanga.
i. Okuzuula enkyukakyuka ezizeewo mu byobuwangwa byTAbaganda.
ii. Okuzuula ensonga eziviiriddeko enkyukakyuka zino mu byobuwangwa
byAbaganda.
iii. Okutema empenda eziyinza okutaakiriza ebyobuwangwa byAbaganda.
OBUKULU BW’OKUNOONYEREZA
a. Kuliyamba abasomesa okwanguyirwa omulimu gwabwe ogwokusomesa
ebyobuwangwa olwensonga nti bajja kuba basomesa nga n’okujuliza bajuliza
okuva mu biwandiiko eby’enjawulo.
b. Kuliyamba gavumenti okukola ekyo ekisaanidde mu ggwanga naddala mu
kukuuma ebyobuwangwa by’ensi yuganda nennono.
c. Kuliyamba abanoonyereza abalala okukubaganya ebirowoozo ku ngeri
eyokweyambisaamu ebyobuwangwa mu kusomesa amasomo amalala nga
ebyafaayo nenkula yensi.
d. Kuliyamba emiti emito okusigala nga bakozesa olulimi oluganda nga ekimu ku
byobuwangwa byAbaganda anti bajja kuba bategeera ennono nobuvo bwe
ggwanga lyabwe Buganda.
e. Kuliyamba eggwanga Buganda okusigaza ettutumu eritagambika ng’essira un mu
byabuwangwa.
OBUGAZI BW’OKUNOONYEREZA
Okunoonyereza kuno kwagenderera okwekenneenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
byAbaganda nensonga eziviiriddeko kino, era essira lyassibwa ku byobuwangwa omuli
olulimi oluganda, ennyambala nenfumbiriganwa. Omunoonyereza yalonda ebyo
olwensonga nti Buganda erina ebyobuwangwa bingi nnyo nga okulima nokulunda,
okuyigga, okukomaga, okuziika nokwabya ennyimbe nebirala, n’olwekyo
omunoonyereza teyasobola kubimalayo byonna ate era ebyo bye bimu kw’ebyo
ebikyasinze okukosebwa ensangi zino.
4
Okunoonyereza kwakolebwa mu kampala disitulikiti mu masomero aga ssekendule omuli
Gaba mixed high school, model high school, kansanga s.s olw’ensonga nti geegamu ku
masomeroagasomesa olulimi oluganda.
Essira lyassibwa ku bayizi abtebibiina ebya waggulu (S.5 ne S.6) awamu n’abasomesa
b’olulimi oluganda mu bibiina ebyo. Abayizi (20) nabasomesa (10) baalondebwa mu
nkola ya kanneemu, kubanga bebaali basoma era n’okusomesa olulimi oluganda era nga
be bamanyi ensonga lwaki waliwo enkyukakyuka mu byobuwanga by’Abaganda.
5
ESSUULA EYOKUBIRI
OKWEKENNEENYA EBIWANDIIKO
ENNYAJULA
Ebiwandiiko bitono nnyo ebiwandiikiddwa wano mu Uganda nga binnyonnyola
enkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda nensonga eziviiriddeko kono.Naye
okwekenneenya ebiwandiiko bino kwesigamizibwa ku bitabo by’olungereza eby’ogera
ku byobuwangwa ne nkyukakyuka mu byo, ne ku bitabo byoluganda ebitonotono.Ssaako
n’ebivudde ku mikutu gy’empuliziganya egigatta ensi yonna okugeza yintanenti.Kyokka
okwekenneenya kuno kwekuusiza ddala ku bigendererwa byokunoonyereza.
BUGANDA N’EBYOBUWANGWA
Daniel muliika,( 2006) annyonnyola nti okuva edda Buganda eyimirudde ku
byabuwangwa era bino bigiyambye okwawukana ku mawanga amalala.(Matovu Joy,
2007) naye atugamba nti ebyafaayo biraga nti bajjajjaffe abaasooka mu nnono baalwana
nnyo okugikuuma ssaako n’okugiyigiriza ha musaayimuto kino kyakolebwanga ku byoto
ngobudde buwungedde.
Buganda okuva edda nga erina entekateeka nnamutaayiika ku nsonga y’okutumbula
n’okukuuma ebyobuwangwa (Matovu Joy, 2010).
Okusinziira ku (Muliika Daniel, 2007) ebyobuwangwa byatambuzibwanga ku misingi
omuli amaka, empya, ennyiriri, emituba, obusolya era nga kabaka ye yali ku ntikko ya
byonna.
Wano mu Buganda, nnazzikuno nga huh omu alma obuvunnaanyizibwa okuyigiriza
abaana ebyobuwangwa, bino bitwaliramu byonna ebyobulamu omuli emizannyo,
ennyambala, enjogera n’oluhimi, emikwano n’embeera endala (Sir Apollo Kaggwa,
1800).
Kirwana ssozi 2007, (ebyobuwangwa y’emmunyeenye y’eggwanga). Atugamba bulijjo
abantu balowooza nti ebyobuwanga bitegeeza bintu ebyedda era nti oh ne bwaba
abyogerako agamba nti Abaganda baakolanga bwe bati. Abantu batwala ebyobuwangwa
nga ebya wansi, ebya sitaani era obutalimu bwennyini.
6
Sir Apilo Kaggwa( 1800) mu Buganda waabangawo ebifo ebitegeke era ebiyoyoote
omwatwalibwanga abantu ne batendekebwa ngempisa bwe yali okugeza embiri era
abantu bangi baasagibwangamu, waabangawo ebisakaate en ba musaayimuto ate
n’ebigango nga muno mwatendekebwangamu abalangira.
Newankubadde nga mu kiseera ekyo tewaaliwo kusoma kwa kuwandiika ebyo
ebyasomesebwanga byakumibwanga abantu bonna olw’ensonga nti bingi byasigalanga ku
mwoyo ssaako ne ku mitima, ate oluvannyuma ne biteekebwa mu bikoiwa era wano
omuntu we baamulabiranga oba aweebuuse oba nedda (Daniel Muliika, 2007).
Twagadde okusaarnu abantu omutima ogwettanira ebyabwe n’okulekera awo
okulowooza nti ebiri ebulaaya bye byomugaso; ebyaffe butaliimu. (Kirwana Ssozi, 2007)
era ayongerako nti bukya bwakabaka buddawo mu 1993,Abaganda naddala abavubuka
bongedde okulaga okwagala en ebyobuwangwa byabwe.
Katikiro Charles Peter Mayiga( 01/02/2017) atugamba mu lukiiko iwa Buganda nti
abavubuka twongere okubakumamu omuliro baleme kwekomomma nga bakola ebyo
ebyobuwangwa byabwe bye bitateekako.
Kirwwana Ssozi mu katabo ke ebyobuwangwa yemmunyeenye yeggwanga, atubuulira nti
Ssaabasajj a Kabaka akoowoola obuganda okwettanira okukulaakulanya ebyobuwangwa
nolulimi oluganda naddala okubiwandiika bisobole okusomwako abaana n’abazzukulu
baffe mu kitabo ekyo (ebyobuwangwa y’emmunyeenye y’eggwanga).Ssozi atuukiriza
oba ayanukula omulanga gwa Ssaabasajja.
Wano we tutuuse ebintu byafafaagana dda ng’entungo eyiika, naddala okuva nga
24/05/66 (Monday) Obote bwe yalumba era nakuba olubiri emisana ttuku.
Ebyobuwangwa byakyuka , esangi zino empisa zaawomoggoka, abaana bakula
babambaavu, obuiwadde bweyongedde, abooluganda tebakyalabagana olw’ensimbi,
eby’okufumbirwa tebakyabisaako mulaka, leero nkugambye!Kye tuva tuwandiika ebitabo
okusobola okuzibikira emiwaatwa egibaddewo nga tulambika emirimu egy’enjawulo
abeLi L]anda gye bakola ku baana baabwe (Kirwana Ssozi, 2007).
7
Bajjajjaffe bafubye nnyo okusomesa ebyobuwangwa olw’ebirungi byabyo omuli bino
wammanga.
Ebyobuwangwa bikikirira ekitiibwa ky’abantu anti bibaddewo emyaka 100,000 emabega
(Melba, 1998) kino kitegeeza nti omuntu alma omulimu ogw’okusigala nga muntu mu nsi
muno.
Obuwangwa bukuuma obwagazi bwennono mu muntu (Kirwana Ssozi, 2007) kale
omuntu abeera ayagala emirandira gye era eno y’ensibuko y’enkulaakulana mu Buganda,
katikkiro Charles Peter Mayiga (2007) bw’agamba.
Obuganda butuyigiriza okukolera awamu mu ssanyu ne mu nnaku (Kirwana Ssozi 2003).
Tewali asobola kuyimirirawo mu nsi muno ne yeetengerera yekka kyova olaba nti mu
kuzimba olubiri iwa Ssabasajja “Saagalaagalamidde” yavuga era bangi baasitukiramu ne
balongoosa olubiri.( katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,2006 Buganda Lukiiko)
era mu Ssanyu masengere ne terefayina (BBS) byazimbibwa mukukugganya ettofaali.
Ebyobuwangwa kitegeeza kumanya nnono era kino kisoboka nga twetaba mu
byobuwangwa byaffe.Wano weewali omusingi, Abaganda mwe babanjiza ebintu byabwe
omuli ettaka n’ebizimbe olw’ensonga nti ebyafaayo babimanyi bulungi nnyo (olukiiko
lwa Buganda 2015).emigaso mingi nnyo naye bajjajjaffe okusinga beesiba ku lulimi
ol’wensonga nti ensi etalina lulimi eba eyolekedde okusaanawo (kabaka Ronald
Muwenda Mutebi II, 2010).
Mulwo mwe basinziira ne bavumirira ebyabagwira era n’okulaga obukulu bwa federo,
nga yenfuga eyakuuma ennono okuyita mu byasa ebiwera era nga eno ye yali ensibuko
y’okukwatirwa Buganda obuggya (katikiro Daniel Muliika, 2006).
Newankubadde nga guli bwe gutyo Buganda tetudde, ekyakola kyonna ekisoboka
okusobola okusigaza ekitiibwa kyayo emisomo mingi egiri mu ggwanga nga gyogera ku
mpisa,Abaganda bakubirizibwa enkya n’e ggulo okusigala ku nnono. Ebisakaate
bikomezeddwawo bibangule ba musaayimutto (kalisoliso CBS, 2017).
Naye okusinga byonna, Abaganda tukubirizibwa okwagala eggwanga lyaffe era tunyerere
ku byobuwangwa ssaako n’ennono, twekuume era tuiwanyise obuiwadde kubanga
8
Buganda eyagala abantu abalamu abanaagitwala mu maaso (Ssabasajja Ronald Muwenda
Mutebi II, 2017).
ENKYUKAKYUKA MU BYOBUWANGWA BY’ABAGANDA
(Daniel muliika 2006)atunnyonnyola nti Abaganda okuva edda nga babalabira ku
buwangwa era baabikuumanga bireme kusasika era kino baakikolanga mu ngeri
ezenjawulo nga;
Okukuuma ebyo ebyava ewa katonda bajjajjaffe baabanga bazira mu kukuuma
ebyobuwangwa ate ne basiga ensigo eno mu bamusaayimutto nga bayita mu byoto era
abakadde bano gwemusingi gwa Buganda. Singa baagayaalira ennono, singa Buganda
yaggwaawo dda nakati abaliwo bakola ekyetagisa (Kirwana Ssozi, 2007) okwagazisa
abato obuwangwa bwabwe.
Okusomesa kuno kwatandikira mu myaka egyasooka nga n’okuwandiika tekunnabaawo
ate era abazungu bwe bajja, okusomesa ne kugenda bugenzi mu maaso nga bugolo.
N’olwaleero abaana basomesebwa mu masomero ag’enjawulo era nga ennono
ekyakumiddwa mu nkola eno (Ssemwogerere, 2002)
Okuva okusoma okwokuwandiika bwe kwajja, Abaganda beefunyirira ku kuwandiika era
bangi ensangi zino bawandiise ebyobuwangwa era eyamulisa omumuli guno ye Sir
Apollo Kaggwa eyalaga obukulu bw’okuwandiika ebyobuwangwa, ku nsonga eno bingi
bitukiddwako (Prof. Walusimbi, 2004).
Ebyobuwangwa mu Buganda bingi era ebimu ku byo bye bino, okwabya ennyimbe,
okukola embaga. enkola ya kizzaijijanda, okwalula n’okumala abalongo,
ennyambala,olulimi, enfumbiriganwa n’ebirala (Kirwana Ssozi, 2006).
Enkyukakyuka mu byobbuwangwa by’Abaganda yatandikira mu kujja kwa bazungu,
abazungu baagootanya nnyo ebyobuwangwa nga batandikira mu kuvumirira
ebyaddugavu nga babiyita ebya setaani ate ne bawaana ebyabwe (Ssekamwa, 2996) kuno
bazaako okutongoza ennimi engwira nga olungereza nakati iwe luli ku mwanjo.
9
Ebyobuwangwa bingi bikyuse era ebimu bisasise kyenkana kufabufi okugeza okuva
edda kabaka nga taddibwamu era nga bwasiima ekyo kye kikolebwa naye obwakabaka
bunafuye luno ejjo lyabalamu omuyimbi kyagulanyi amanyiddwa nga bobi wine bwe
yavvodde obuganda wamu nokukunga abantu nga bayita ku mikutu gy empuliziganya
egyenjawulo nga bakozesa ebigambo ebivvoola obuganda n’obwakabaka. Kino kyali
kyalabwako dda katikkiro Muliika bwe yagobwa era abavubuka abenjawulo baavaayo ne
beekalakaasa so nga kiwebuula ebyobuwangwa (kato Lubwaama mp ku CBS programme
nze nga bwe ndaba).
Edda abaana baagunjulirwanga mu bisakaate ssaako n’embiri (Kirwana Ssozi, 2007) naye
kino kyavaawo dda era abaana bangi bafuuse ba kyetwala (bukedde olupapula, 2008)
naye ku nsonga eno Nnaabagereka akirwanyeko ng’azaawo ebisakaate era abazadde
bakijjumbidde nnyo.
Mukwabya ennyimbe bingi bikyuse.Nazzikuno ng’olumbe terwabizibwawo (Kirwana,
Ssozi, 2007) naye ensangi zino abantu bangi ennyimbe baazivaako kino kyeyolekera mu
balokole, abasiraamu n’abatabbuliki. Ate abalala baasalawo ku zabizaawo nga bavudde e
magombe ne batagoberera bulombolombo nga; okufulumya olumbe, okugya abaana ku
kifugi n’ebirala (Ssenga Nakibuule Mukasa ku Laadiyo Kaboozi).
Bwe kituuka ku nnyambala ne gujabagira abantu bangi busuuti tebabumanyi ate ensangi
zino bambala za bituli ze baakazaako erya “Damage” mbu gwe mulembe (Ssenga
Nakibuule) era ku nsonga eno kwe tugattira olulimi, abantu bangi tebarnanyi lulimi iwa
bwe era batono ddala abasobola okugereesa mu nnimi zaabwe. (kirwana Ssozi, 2007).
Ebyobuwangwa bingi ebikyuse era nga newankubadde guli gutyo obwakabaka bwa
Buganda bukyalwana okukuuma ennono, omumuli guno gumulisiddwa kabaka ng’ayita
mu kuituteerawo terefayina eyaffe okuli pulogulamu eziyigiriza ebyobuwangwa
n’ennono nga okwo ssaako Laadiyo z’obwakabaka okuli CBS 88.8 n’emrnanduso
ey’abavubuka abomulembe omutebi-( 89.2) ne pulogulaamu zaayo ezitumbula
ebyobuwangwa nga; akeezimbira (katikkiro Charles Peter Mayiga). Ebibiina bingi ebizze
bitandikibwawo okusobola okutumbula ebyobuwangwa bino bisangibwa mu masomero
n’amatendekero agenjawulo okugeza kalibaakendo, Baganda nkobazambogo nga buli
10
kimu kiba n’emiramwa egigenderera okutumbula ebyobuwangwa. Bingi ebireseewo
enkyukakyuka naye tusaanye twesibe bbiri olw’ensonga nti ensi etalina byabuwangwa
tebeera nsi (Muliika Daniel, 2007).
ENSONGA EZIVIIRIDDEKO ENKYUKAKYUKA ZINO MU BYOBUWANGWA
BY’ABAGANDA
Newankubadde nga bingi bikoleddwa okukuuma ebyobuwangwa mu Buganda ne Africa
okutwalira awamu, bingi ebiviiriddeko ebyobuwangwa okukyuka ssaako n’okusasika era
ebimu ku biviiriddeko kino bye bino;
Africa erina amawanga agasoba mu makumi ataano (UN, Report 2004) ate ne mu
mawanga ago gennyini mulimu muggo amawanga ag’enjawulo, okugeza mu yuganda
mulimu amawanga agasoba mu 52, kale ebimu ku byobuwangwa tebimanyiddwa
ekibiretedde okusasika n’ okukyukakyuka (Gadaa, 1990).
Ensangi zino okufumbiriganwa n’amawanga ag’enjawulo kireese enkyukakyuka mu
by’ obuwangwa, okugeza omusoga n’ awasibwa omuganda, ebyobuwangwa bingi
tebituukiriziddwa mu mbeera eno ate n’abaana abazaaliddwa basanze obuzibu okumanya
ebisanidde okukola era ekivudde mu kino bya buwangwa kusasika (Ssenga Nakibuule
mukasa, 2010).
Obugayaavu bwabantu abalina obuvunaanyizibwa naddala mu kusomesa
ebyobuwangwa. Bangi tebafuddeeyo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe
n’ekivuddemu bya buwangwa kusasika, okugeza ebifo bingi nnyo ebyobuwangwa
bitundiddwa era bingi ku byo bisasise lwa bulagajjavu mu ggwanga (Betty Nambooze
Bakireke, 2017).
Entalo ezitatadde nazo zireteedde ebyobuwangwa okukyukakyuka. Ensangi zino entalo
ziyitiridde naddala mu bitundu nga kaseese ekitta bantu gye kyasookera, tuutwo mu
bitundu nga masaka, sembabule ne mu bitundu ebirala. Kino kijja oluvannyuma
lw’okusuula ebibaluwa ebibalaalika.Kino kiviiriddeko abantu okubundabunda kko
n’ebyobuwangwa okuggwekerera (Frank Gashumba, 2017).
11
Ebikoiwa eby’entiisa ebikolebwa abo abeerimbika mu byobuwangwa nabo bakoze
kyamaanyi nnyo okudobonkanya ebyobuwangwa mu Africa, emize omuli okusadaaka
abantu kireetedde abantu bangi okukyawa ebyobuwangwa byabwe (Gadaa, 1990).
Obukyayi bungi nnyo mu ggwanga naddala mu bakulembeze abatagala byabwe ate ne
mu bannansi abatafuddeeyo ku kuuma byabwe. Abakulèmbeze bafa ku bya bweru so nga
eno nsobi y’amaanyi.
Laba kati gavumenti eyagala kutongoza luswayiri, olulimi olugwira lubeere nga
lukozesebwa mu bifo ebyolukale, ennimi ennansi ziyolekedde okusaanawo era eno
y’ensibuko y’okufiirwa ebyobuwangwa ebiwerera ddala singa gavumenti tekyusaamu
(Charles Peter Mayiga Katikkiro, 2017) (Buganda Lukiiko).
Obwavu mu ggwanga nabwo buletedde ebyobuwangwa obuzibu obutagambika, abantu
abasing tebakyasobola kutuukiriza nnono nabyabuwangwa.Ensangi zino abantu olumala
okuziika nga baabya nnyimbe so nga kino kikyamu okusinziira ku byobuwangwa
n’ennono. Ekireese kino bwavu anti abantu tebasobola kukola mikolo gino
oluvannyuma. (Gadaa 1987).
Eddiini ezimeruse ensangi zino zivumiridde nnyo ebyobuwangwa.kino kireetedde abantu
okubitunuulira ng’ebya sitaani saako ebyedda.Abavubuka bangi tebaagala kweyita
mannya gaabwe ag’ekika, bagamba amannya ga balubaale.N’olwekyo eddiini zityobodde
nnyo ebyobuwangwa ekireetedde ebisinga okusaanawo (Ssekamwa, 2000).
Ebyobuwangwa bingi tebiwandiikiddwa ate n’abasomye batono ddala olw’okuba bingi si
biwandiike, bingi bizaaye so nga abakadde ababimanyi batondoka bafa, n’olwekyo
obweralikirivu bungi nnyo mu ggwanga, singa ebyobuwangwa tebiwandiikibwa ensi
eyolekedde amatigga (Gadaa, 1987).
EBIBUUZO BY’OKUNOONYEREZA
Waliwo enkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda?
Waliwo ensonga eziviiriddeko enkyukakyuka zino mu byobuwangwa y’Abaganda?
Waliwo empenda ezisobola okutemwa okusobola okutangira enkyukakyuka zino?
12
EBYEYAMBISIBWA
Omunoonyerezayeeyarnbisa ebibuuzo eby’okumumwa n’ebyokujjuzaamu era byonna
byesigamizibwa ku nkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda.
Ebibuuzo eby’okuddibwamu bya gabibwa en abasomesa n’abayizi Ssekinoomu mu biti
byabwe, ebyokumumwa byagenda en abantu ssekinoomu n’abali awamu.
Omunoonyereza yasooka kubuuza abayizi n’abasomesa ebibuuzo eby’okumumwa
n’oluvannyuma yabawa eby’ okujjuzaamu.
Ebibuuzo eby’okujjuzaamu byalekebwamu amabanga abayizi n’abasomesa mwe
baawandiika ensonga ze baalina ku bye baababuuza ku nkomerero ya byonna
yabitaputan’ omuluijrj amya we.
OBUTUUKIRIVU N’OBWESIGE BW’EBINTU EBYEYAMBISIBWA MU
KUNOONYEREZA
Okuzuula n’okukakasa nti ebyeyambisibwa bituukiridde era byesigika okusobola
okutuukaku byagendererwa n’ ebyaluubirirwa, omunoonyerezayabyekkaanyako
n’omuluijijamya we ate oluvannyuma yabigezesa mu bayizi n’abasomesa b’olulimi
oluganda.
OKWEKENNEENYA EBYAZUULIBWA
Omunoonyereza oluvannyuma 1w’ okunoonyereza yajungulula ebyazuulibwa nga
yeeyambisa enkola eya Nnakannyonnyozi era yeesigama ku ngeri abayizi n’abasomesa
gye baddamu ebibuuzo ebyali bibabuuziddwa. Olwo yabijungulula ng’abizza ku buli
kikumi (100%) era yalaga okukkiriziganya oba okugaana.
14
EBIZIBUEBY’AMUTUUKAKO
Omunoonyereza yeesanga ng’obudde butono ddala okusinziira ku byakolebwa kino
kyagotaanya okunoonyereza kwe kko n’ebitabo bye byeyali akyasorna.
Omunoonyereza yasanga obuzibu okuva mu bantu abataayagala kuddamu bibuuzo nga
baagala ssente.
Ebbuiwa ly’ebikozesebwa nga ebitabo eby’ekuusa ku mutwe gwe, ssenteezaamutambuza
n’ebirala, kino kyaleetawo okugotaana kw’entegeka ze.
ENGERI GY EYABIVVUNUKAMU
Omunoonyereza yasaba omuluLl Llamya okumwongera obudde asobole okumaliriza
omulimu gwe.
Omunoonyereza yeewala abaali bamusaba ssente era yakolagana n’ abo abaali abeetegefu
okumuyarnba nga tabawadde ssente.
Omunoonyereza yakolera mu bitundu eby’okumpi okusobola okwewala okusasaanya
ennyo era yafuna ornutwe ogutetaaga bikozesebwa bingi.
15
Entekateeka N’engabanya Y’obudde
~BUDDE N’ENNAKU Z’OMWEZI EBIRIKOLEBWA
0/03/2017 Okulonda omutwe0th /03/2017 Okwanjula ekizibu n’ omugaso gwokunoonyereza
St /04/2017 Okwekenneenya ebiwandiiko
5th /04/2017 Okulonda ebibuuzo by’ okunoonyereza
0th /04/2017 Okwekenneenya oluwenda 1w’ okunoonyereza
0th /05/2017 Okwekenneenya ebifo n’ebibinja by’abantu
St /06/2017 Okwekenneenya ebyeyambisibwa
5th /06/2017 Okwekenneenyaobutuukirivun’obwesige
bw’ ebyeyambisibwand /07/2017 Okwekenneenya ebyazuulibwa
0th /08/20 17 Okuwaayo ebbago
Embalirira Y’ensimbi
BIRIKOZESEBWA OMUWENDO BULl KIMU ZE KIGULA WONNA OMUGATTE
mpandiiso 5 5,00 2,500
mpapula 3 10,000 30,000
ntambula Ennaku 30 30,000 90,000
)kulya Ennaku 30 3,000 90,000
kakwata eddobozi 1 30,000 30,000
16
ESSUULA EY’OKUNA
OKWANJULA N’OKUKWATAGANYA EBYAZUULIBWA
ENNYANJULA
Okunoonyereza kwagenderera okwekenneenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
by’ Abaganda n’ ensonga eziviiriddeko kino.Omunoonyereza kino yakikola ng’ akozesa
enkola ya Nnakannyonnyozi ng’asinziira ku ebyo ebyaddibwamu abasomesa n’abayizi
mu masomero agaalondebwamu.
Bino bye byazuulibwa okusinsinziira ku abo abaddamu ebibuuzo ku buli kikumi.
OBUYIGIRIZEBWANGE BWA
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okuzuula obuyigirize bw’abasomesa
era ebyazuulibwa bin ku lutala luno;
Olutala (1) obuyigirize
Okweroboza Obujjumbize Ku buli kikumi
Ddiguli emu 5 25
Ddiguli bbiri 15 75
Okusingawo — —
Omugatte —~ 20 100
Omugatte gw’abasomesa bonna baali 20
Okunoonyereza kwazuula nti abasomesa ebitundu 25 ku buli kikumi baalina obuyigirize
bwa ddiguli emu ate ebitundu 75 ku buli kikumi baalina obuyigirize bwa ddiguli bbiri.
17
Maze Wakati W’emyaka. . ..Ng’ansomesa
Ornunoonyereza y~abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okuzuula emyaka abasomesa gye
baali baakasomesereza olumi oluganda.Bino bye byazuulibwa.
Olutala (2) emyaka gye mmaze ng’asomesa
Okweroboza Obujjumbize Ku buli kikumi
1-3 2 10
4-7 10 50
Okusingawo 8 40
Omugatte 20 100
Omugatte gw’abasomesa bonna baali 20. Okunoonyereza kwazuula nti abasomesa
ebitundu 40 ku buli kikumi baali baakasomesereza emyaka musanvu n’okusingawo,
abasomesa ebitundu5O ku buli kikumi baali bakasomesereza wakati w’emyaka 4-7, ate
abasomesa ebitundu 10 ku buli kikumi nga baakasomesereza wakati w’ emyaka 1-3.
Ebyobuwangwa kye ki?
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okuzuula oba abasomesa n’abayizi
baali basobola okunyonnyola amakulu gaakyo. Ezimu ku nyinyonnyola ze zino
wammanga;
o Kitegeeza emizannyo n’okuyimba
o Kitegeeza aby’ennono omuli ensinza n’olulimi
o Olulimi lunnabantu olwefuze ssemazinga Africa
o Kitegeeza olulimi olunnansi olwawula eggwanga erimu ku linaalyo.
o Z’empisa n’embeera z’abajjajja ffe
o Bye byo ebifuula eggwanga okuba eggwanga
o Bwe bugagga obw’ensibo katonda bw’agabira abantu, nga bweyolekera mu
ndowooza ne mu bikoiwa.
o Kitegeeza endowooza z’abantu abali awamu ze bakkiririzaamu.
• Kitegeeza emirimu, ebisiige n’enzikiriza ezawula eggwanga erimu ku ddala
18
o Y’enkola ekiririzibwamu ebintu byorma ebikolebwa omuli ennyimba, amazina,
ebitontome n’ ebisiige.
Birina Mugaso Ki Mu Ggwanga?
Omunoonyereza y~abuuza ekibuuzo kino ngayagala okulaba oba abasomesa n’abayizi
baali bamanyi emigaso gy’ebyobuwangwa.Egimu ku migaso gye baawa gye gino.
o Y’ensulo y’okwatibwa obugya ebyamwe naddala
eby’ abagandalabaddugavu.
o Bikuuma obwagazi bw’ennono mu muntu.
o Biyamba okubeeragana mu nnaku n’essanyu.
o Biyigiriza okukolera awarnu.
o Y’ensulo y’okwagala obwakabaka.
o Byawula eggwanga erimu ku ddala.
o Y’ensula y’okumanya ebyasasika.
o Biyamba okumanya ennono.
o Y’ensulo y’okusinza.
o Biyamba okuba omuiwanirizi w’e ggwanga.
o Y’ensulo y’obulambuzi.
o Biyigiriza ensibuko y’omuntu.
WALIWO ENKYUKAKYUKA YONNA MUBYOBUWANGWA BINO
OLULIMI OLUGANDA, ENYAMBALA N’EBYOBUWANGWA?
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo kino ngayagala okumanya oba abayizi n’abasomesa
balabawo enkyukakyuka mu byobuwangwa.Bino wamanga bye byazuulibwa.
19
Olutala (3) Enkyukakyuka mu byobuwangwa.
Abasomesa Abayizi
Okweroboza Obujjumbize ku buli kikumi Obujjumbize ku buli kikumi
Yee 75 7 7015
Nedda - 25 3 305
Omugatte 100 10 100
20
Omugatte gw’abasomesa baali 20. Okunoonyereza kwazuula nti abasomesa ebitundu 5
ku buli kikumi be baalaga nti waaliwo enkyukakyuka mu byobuwangwa ate ebitundu 25
baagamba nti tewali nkyukakyuka.
Omugatte gw’abayizi baali 10. Okunoonyereza kwazuula nti abayizi 70 ku buli kikumi
baalaga nti waliwo enkyukakyuka mu byobuwangwa ate ebitundu 30 baagamba tewali
nkyukakyuka.
BWE MBA YEE LAGA ENKYUKAKYUKA ZINO.
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo kino abasomesa n’abayizi ng’ayagala balage
enkyukakyuka mu byobuwangwa. Era ezimu ku nkyukakyuka ze zino;
OLULIMI OLUGANDA.
o Enzimba y’emboozi nfu nnyo.
o Oluganda iwogerwa nga lutabuiwatabuiwa n’ennimi endala.
o Engero zikozesebwa bbalirirwe.
o Abawandisi batono ddala.
o Lukyayiddwa.
o Bangi baddirjijana buddirjrjanyi ebigambo.
20
o Empandiika entongole nfu nnyo.
Ku mikolo lukozesebwa bubi nnyo.
Abanoonyereza mu lulimi batono ddala.
Obuwemu bususse nnyo mu lulimi.
o Engero zikozesebwa kifuula nnenge.
ENNYAMBALA.
o Leesu zifuuse leesu mu nnyimbe SO 51 gomesi.
o Emigongo giyita wa bweru.
• Obutiiti buyita wa bweru.
Obuwale burnutema bungi nnyo.
o Obugoye obukwata akabina bungi nnyo.
o Amabeere gayita bweru.
o Empalezi “damage” zambaiwa bonna.
o Bbulawuzi bambala za mukono gumu.
o Obugoye obutangaala bungi nnyo.
o Abakulu n’abatto engoye bambala” fitting”.
EBY’ OBUFUMBO
o Bangi abafumbirwa tebakyateekebwateekebwa nga obuwangwa bwe bulagira.
o Ebyokwalula abaana byasuulibwa muguluka.
o Okubaliga mu bufumbo n’okugaba abaana gwafuuka muze.
o Soda kati gwe mwenge kumikolo gy’obuwangwa
o Okukyalira ensiko bangi baakuvaako dda.
o Okubeera embeerera kati kya kivve ensangi zino.
o Tewakyali kufunira mwana omwagalwa nga edda.
o Kawundo kakubye eddirisa kalidde empanga ensangi zinno.
o Abanoonya beeranga ku mikutu gy’empuliziganya.
o Abantu tebakyafa ku byafayo by’omuntu gw’ayagala.
Abakazi bawasa n’okwanjula ne banjula abaSajja.
21
o Arnawemukirano mangi nnyo.
o Mu bufumbo abakyala baagala bya bugagga.
BIZIBU KI BYE TUSANGA MU NKYUKAKYUKAZINO?
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo kino ngayagala abasomesa n’abayizi balage obuzibu
obuli mu nkyukakyuka zino. Ebimu ki byo bye bino;
o Obuyaaye bungi nnyo mu ggwanga.
o Omukwano gwa rnpa nkuwe.
o Ennono egenda.
o Obyobuwangwa byerabiddwa.
o Olulimi luggwaawo.
o Obwamalaaya bweriisa nkuuli.
o Yuganda eyolekedde okusaanawo.
o Emiti emito gikyaye obufumbo.
Amawemukirano n’endwadde zi nnamutta.
o Okuwemula kususse.
o Bangi badibidde ku mpya.
o Okugyamu embuto n’obuko bususse.
o Ettemu lingi mumaka ne asidi afuuse aside.
o Okubonyaabonya abaana kususse n’ensi esaanawo.
BIRUNGI KI EBIRI MU NKYUKAKYUKA EZO?
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo kino ngayagala abasomesa n’abayizi bawe ebirungi
ebisangiddwa mu nkyukakyuka ezo.
o Abakyala tebakyatulugunyizibwa.
o Omubeezi gwe njagala gwe nfuna.
o Omukwano gweyongeddemu ebisoko.
o Buli omu atwala kyalabyeko n’olwekyowabaawo okwekakasa.
o Abasajja tebakyadaaga mukwano.
22
Obukodyo mu mukwano bweyongedde.
o Emikutu gy~empu1iziganya zifuna ssente naddala mu bulango bw’abanoonya.
Nze ngomusajja nsajalaata busajalaasi.
o Nze abaana bankuliza bakulize.
o Bangi bettanidde obulokole obuwagira soda n’olwekyo abalokole bafunye
abagoberezi.
o Abaiwanirira ebyobuwangwa bawereddwa emirimu.
o Okugeraageranya kwamaanyi nnyo mu ggwanga kw’ebyo ebiriwo ne byaliwo,
NSONGA KI EZIRESEEWO ENKYUKAKYUKA ZINO?
Omunoonyereza yabuuza ekibuuzo ng’ayagala abayizi n’abasomesa bawe ensonga
eziviiriddeko enkyukakyuka zinno. Ezimu ku nsonga ze zinno;
o Amateeka amanafu mu ggwanga.o Okweyagaliza.o Obukyayi.o Omutima omusomi mutono.o Obutawandiika byabuwangwa.o Omugotteko gw’abantu.o Ssayaansi ne tekinologiya.o Abakaddebafudde.o Obwavu.o Ennimi engwira ziyitiridde.o Eddembe ly’abaana lisusse.o Obunafu mu bakulembeze.o Omwenkanonkano.o Okwegomba n’omulugube.o Okukozesa ebitamiiza.o Okusasika kw~ebifo ebigunjula abaana.o Okunoonyereza okutono.o Okuwoolera eggwanga.
23
BWE MBA NEDDA KAKASA NTI TEWALI NKYUKAKYUKA YONNA.
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala abasomesa n’abayizi abaalonda nti
tewaali nkyukakyuka mu byobuwangwa, bawe obukakafu nti tewaali nkyukakyuka
yonna. Obumu kubukakafu bwe buno wammanga;
OLULIMI OLUGANDA.
o Abantu nga omugenzi Kafeero beegazaanyiza mu lulimi.
o Empandiika entongole bangi bagyekakasa.
o Ebigambo ebyedda bikyakozesebwa.
o Bangi bakyayagala olulimi lwabwe.
o Bangi bakyanyikidde okuvumirira omuvuyo.
ENNYAMBALA.
o Obugoye obutippa omubiri buvumiridwa.
o Abalonda engoye ku mikolo begendereza nnyo.
o Obugoye obukunikkirabuvumiriddwa.
o Bangi bavumirira abalaga empale ez’omunda.
o Bangi bambala ne baggumira nga munda mulimu ppeti oba ebikooyi.
o Engoye ezitangaala zivumiriddwa.
EBY’OBUFUMBO.
o Obugya butono naddala mu basiraamu.
o Abawala bangi balinda babagambeko.
o Bangi ku banoonya baagala okumanya ebyafaayo.
o Bassenga abaddala bakyakola omulimu gwabwe.
o Embeerera zikyaliyo.
o Obwetowaze bukyali bwamaanyi mu maka SO S~ mwenkanonkano.
o Abafumbirwa bangi bakyali mu mitendera gy’obuwangwa.
o Omwenge gukyatwalibwa ku buko.
24
MPANDA KI EZIYINZA OKUTEMWA OKUSOBOLA OKUTAASA
EBYOBUWANGWA BY’ABAGANDA OBUTASAANAWO?
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala abasomesa n’abayizi bawe empande
ezisobola okutaasa ebyobuwangwa by’Abaganda. Ezimu ku zo ze zino wammanga;
o Abantu basomesebwe nti si huh abagwira kye baleeta kiba kirungi.
o Abaganda babeere n’obugya ku byabye.
o Abavubuka babagasize ebyabwe kuba gy’emiti emito egiggumiza ekibira.
o Bamusaayi muto babulirirwe ku bikwata ku nnono.
o Abakulembeze babeere kyakulabirako.
o Abazadde babeere kyakulabirako.
o Abaana basooke basomesebwe ennimu zaabwe nga engwira tezinabasomesebwa.
o Abasomesa bakulembeze eby’Abaddugavu so si eby’abeeru.
o Abantu basomesebwe nti ssente mugenyi naye ebyobuwangwa bugagga bwa
nsibo.
o Oluganda lufuulibwe olulimi lw’eggwanga.
o Abantu bakubirizibwe okwagala eggwanga lyabwe.
o Buganda eweebwe federo.
o Abantu basomesebwe emigaso gy’ebyobuwangwa.
o Obufumbo bw’amawanga amagatte buvumirirwe.
OLI MU KIBIINA KYA KUMEKA?
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okumanya ebibiina abayizi bye
baalimu, era ebyazuulibwa bye bino;
Olutala (4) ekibiina ky’osomamu., _________________
Omwaka okweroboza ku kubi kikumiEkisooka —
Ekyokuna — —
Ekyokutaano 3 30Ekyomukaga 7 70Omugatte 10 100
25
Omugatte gw’abayizi baali 10.Okunoonyereza kwazuula nti abayizi 30 ku buli kikumi
baali mu kibiina kyakutaano, abayizi 70 ku buli kikumi baali mu kibiina kya mukaaga.
EMYAKA NINA
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino azuule emyaka gy’abayizi, era ebyazuulibwa
bye bino wammanga;
Olutala (5) Emyaka
Emyaka Okweroboza Ku buli kikumi
14-16 2 20
17-19 8 80
Okusingawo — —
Omugatte 10 100
Omugatte gw’abayizi baali 1 0.Omunoonyereza yazuula nti abayizi ebitundu 20 ku buli
kikumi baali wakati we myaka 14-16, ebitundu 80 ku buli kikumi baali wakati we myaka
17-19.
WATANDIKA DIM OKUSOMA OLUGANDA
omunoonyerezay’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okuzuula omutendera abayizi kwe
baatandikira okusoma olulimi oluganda. Egimu ku gyo gye gino;
Pulayimale.
o ‘0’ level (eddaala lya bulijjo).
o ‘A’ level (eddaala lya nsenvuddeko).
o Natandikira waka.
26
ANI YAKUSIKIRIZA OKUSOMA OLUGANDA
Omunoonyereza y’abuuza ekibuuzo kino ng’ayagala okuzuulaeyasikiriza abayizi
okusoma oluganda.
• Omusomesa wa pulayimale.
• Kitange.
o Mmange.
o Nze kennyini.
• Mukwano gwange.
• Jjajja.
27
ESSUULA EY’OKUTAANO
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO, OKUWEERERA N’OKUFUNDIKIRA
OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO
ENNYANJURA
Okunoonyereza kuno kwagenderera okwekenneenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
by’ Abaganda n ‘ ensonga eziviiriddeko kino Okukubaganya ebirowoozo
kwesigamiziddwa ku bibuuzo by’ okunoonyereza bino wammanga;
o Waliwo enkyukakyuka ezizeewo mu byobuwangwa by’Abaganda?
o Waliwo ensonga eziviirideko enkyukakyuka zino mu byobuwangwa
by’Abaganda?
o Waliwo empenda ezisobola okutemwa okusobola okutangira enkyukakyuka zino?
WALIWO ENKYUKAKYUKA EZIZEEWO MU BYOBUWANGWA
BY’ABAGANDA?
Ebyava mu kunoonyereza biraga nti abasomesa baali bayivu anti ebitundu 25 ku buli
kikumi baalina ddiguli emu ate ebitundu 75 ku buli kikumi baalina ddiguli ssatu. Era
baalina obumanyirivu mu mulimu anti abasomesa ebitundu 10 ku buli kikumi baali
bakasomeseza wakati w’emyaka 1-3, ebitundu 50 ku buli kikumi baali bakasomeseza
wakati w’emyaka 4-7 ate ebitundu 40 ku buli kikumi baali bakasomeseza wakati
w’emyaka 7 n’okusingawo.
Ku nkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda, abasomesa ebitundu 75 ku buli
kikumi be baalaga nti waaliwo enkyukakyuka ate ebitundu 70 kubuli kikumi eby’abayizi
nabo baakikkatiriza.
28
EZIMU KU NKYUKAKYUKA ZE BAAWA MWE MWALI ZINO;
Mu lulimi baalaga nti oluganda lw’ogerwa nga tutabuiwatabuiwa n’ennimi ennddala.
Ate mu nnyambala baalaga nti Gomesi kati za nnyimbe, bangi bambala mpale kko
n’empale ez’omunda ziyita wa bweru.
Ate ku byobufumbo baalaga nti kawundo kakubye eddirisa kalidde mpanga,
amawemukirano mangi nnyo ate n’okubeera embeerere kya kivve ensangi zino.
Enkyukakyuka ezo nkulu nnyo era abantu abenjawulo baazogerako.Bwe twogera ku
lulimi, ensangi zino ekiyitibwa okugereesa kyafuuka dda lufumo, n’olwekyo abayizi
kibabeerera kizibu okwogera nga tebatabuddetabudde luganda n’annimi enddala era kino
kyeyolekera nnyo ne mubatusingako.
Ssozi(2000) akikaatiriza anti abantu tebakyasobola kwegazaanyiza mu lulimi okugyako
okuddiana obuddianyi ebigambo ekireetedde olulimi okukyayibwa.Obukyayi buno
buviiraddala ku nsomesa esusuuta eby’abagwira ate ne bafeebya eby’abaddugavu.
Ku nnyambala, obuseegu buviiridde ddala ku nsonga y’okusasika kw’ebifo ebyali
bibangula abaana nga; ebisaakate n’embiri ne wankubadde nga maama Nnaabagereaka
agenze abizaawo, kale ensangi zinno kiswaza nnyo okulaba nga Gomasi zirabwa mu
nnyimbe zokka. Ssenga Nakibuule mukasa akaatiriza nti bangi bambala mpale, ate ne
bagenda mu maaso okuyisa empale ez’omunda wa bweru.
Okusinziira ku nkyukakyuka ezo waggulu, ekibuuzo ekyali kigamba nti;
Waliwo enkyukakyuka ezizeewo mu byobuwangwa by’Abaganda?Nekibeera nga
kiddiddwamu nti mu lulimi, oluganda iwogerwa nga lutabuiwatabuiwamu ennimi endala
era bangi baddiana buddianyi ebigambo sosi kwegazaanyiza mu lulimi.
Ate mu nnyambala baalaga nti Gomesi kati za nnyimbe, bangi bambala mpale kko
n’ezomunda okuyita wa bweru.
Ate ku by’obufumbo, kawundo kakubye eddirisa kalidde empanga, n’amawernukirano
mangi, n’okubeera embeerera kya kivve ensangi zino.
29
WALIWO ENSONGA EZIVIIRIDDEKO ENKYUKAKYUKA ZINO MU
BYOBUWANGWA BY’ABAGANDA?
Ku nkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda, basomesa ebitundu 75 ku buli kikumi
baalaga nti ddala waaliwo enkyukakyuka ate ebitundu 70 ku buli kikumi eby’abayizi
baalaga nti era waliwo enkyukakyuka. N’olwekyo bano be beetaba mu kuwa ensonga
eziviiriddeko enkyukakyuka zino.
Ezimu ku nsonga ze baawa ze zino wammanga;
o Amawanga ag’enjawulo.
o Obugayaavu.
o Ebiwandiiko ebitono.
Ensonga ezo zirina obubaka obukuku ddala ssenga Nakibuule mukasa akirambika nti
okufumbiriganwa okulimu amawanga ag’enjawulo kuleetedde bangi okuva ku nnono
zaabwe olw’ensonga nti eggwanga erimu kyeritwala okuba ekyebbeeyi ate eddala liba
liraba nti temuli nsonga.
Gadaa (1987) akirambika nti abaagalana bano olw’okwagala okubeera awamu, oluuyi
olumu lubaako kye lusuula ate bwe gutuuka ku baana enkuza ebulira ddala anti babeera
mu bulombolombo bwa mirundi ebiri.
Obugayaavu bungi nnyo, naye eky’ennaku butandikira waka.Abazadde tebakoze mulimu
gwabwe (Nakibuule Mukasa 2008).
Abazadde balemeddwa okugunjula abaana ku nnyambala embi kubanga omwana ava
awaka ng’ayambadde bubi nga n’omuzadde waali ate n’atamukomako. Kino kiretedde
ebyobuwangwa okusasika (Nakibuule Mukasa 2008).
Okuwandiika mu Africa kikyali kizibu ddala ebyobuwangwa mu Africa bingi nnyo era
bingi tebimanyiddwa muwendo (Gadaa 1987). N’olwekyo bingi sibiwandiike ate
ng’ essuubi ly’ okubiwandiika ligenda lisereba. Kino kireetedde ebyobuwangwa bingi
okusasika n’ okukyuka.
30
Okusinziira ku nsonga ezo waggulu ekibuuzo ekyali kigamba nti waliwo ensonga
eziviiriddeko enkyukakyuka zino mu byobuwangwa by’Abaganda?Ne kibeera nga
kiddiddwaamu.
WALIWO EMPENDA EZISOBOLA OKUTEMWA OKUSOBOLA
OKUTANGIRA ENKYUKAKYUKA ZINO?
Ku nkyukakyuka mu byobuwangwa by’Abaganda abasomesa ebitundu 75 ku buli kikumi
baalaga nti ddala waaliwo nekyukakyuka ate ebitundu 70 ku buli kikumi bye byali
eby’abayizi abaalaga ensonga eno. N’olwekyo bano be beetaba mu kuwa empenda era ze
zino wammanga;
Okuwandiika ebyobuwangwa, okubisomesa abantu n’ okubibagazisa.Empenda ezo nkulu
nnyo era mu kutaasa ebyobuwangwa ze zimu ku mpagi luwaga.
Gadaa (1987) akirambiika bulungi nti essuubi ly’Africa un mu kusomesa bya buwangwa
ebyayo.Singa bannansi bakimanya nti ebyobuwangwa bye bimu ku bintu byabwe kino
kijja kubawa oluwenda okubikuuma ng’akalira k’omwana (Gadaa 1987).
Okuwandiika y’ensulo y’okukuuma ennono. N’olwekyo ebyobuwangwa byonna birina
okuwandiikibwa mu bulambulukufu bwabyo (Ssemwogerere, 2008). Nga ne bwe kiriba
okubyagazisa emiti emito walibeerawo ekiriba kibamanyisa byonna (Muliika Daniel,
2006).
Okusinziira ku nsonga ezo waggulu ekibuuzo ekyali kigamba nti waliwo empenda
ezisobola okutemwa okusobola okutangira enkyukakyuka zino?Ne kibeera nga
kiddiddwaamu.
OKUWEERA
Abanoonyereza abajj a banoonyereze ku ngeri y’ okulongoosa eby’ obuwangwa
by’Abaganda bibeere ku mutindo.
Abanoonyereza abajja banoonyereze ku ngeri eddiini engwira gye zisobola okukolagana
obulungi n’ebyobuwangwa mu Buganda.
31
Abanoonyereza abajja banoonyereze ku ngeri y’okwagazisa abakulembeze
Ebyobuwangwa Byabwe.
OKUFUNDIKIRA
Ensi etalina bya buwangwa ebeera nfu n’olwekyo ky’ekiseera Abaganda okukwatibwa
obuggya ennono yaffe naddala en abo abatagyagala.Abakulembeze bakubirizibwa
okufaayo ennyo, awo abaana abenkya basobole okutegeera ennono.Kino kye kiriyamba
emiti emito okuzimba Buganda ey’enkya.
EBIJULIDDWA
o Kirwana Ssozi (2002) ebyobuwangwa y ‘emmunyeenye y ‘eggwanga kampala;Nets
Africa Limited.
o Ekibiina ky’abasomesa (2001) olulimi ly ‘eggwanga kampala:Nets Africa Limited.
• Karren (2000) culture and customs. Cambridge University Press.
o Brenda (2000) impact ofculture; Cambridge university press.
o Ssenteza kajubi (1992) Government White Paper.
o Hellen (2001) Africa andforeign cultures Cambridge University press.
o Ssemakula (1995) ebyobuwangwa mu Buganda Anthony .com
o Megaa (1988) problems ofculture Cambridge University press.
32
EBIBUUZO Effi ABASOMESA
SsebolNnyabo,
Ebibuuzo bino bigenderera okwekennenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
by’ Abaganda.N’ obuwombeefu osabibwa okubiddamu awatali kutya
kwonna.Ebinaddibwamu bijja kutwalibwa nga bya kyama.
N.B/WET: kozesa akabonero ~ okweroboza
1. Obuyigirize bwange bwa;
i. Ddiguli emu
ii. Ddiguli bbiri
iii. Okusingawo
b. Maze wakati wemyaka ng’ansomesa
i. 1-3
ii. 4-7
iii. okusingawo
2. ebyobuwangwa kye ki?
b. Birina mugaso ki mu ggwanga?
3. Waliwo enkukakyuka yonna mu byobuwangwa bino; olulimi oluganda,
ennyambala, n’ eby’obufumbo?
i. Yee
ii. Nedda
33
b. Bwe kiba yee laga enkyukakyuka zino mu
i. lulimi oluganda
ii. Ennyambala
iii.Eby’obufumbo
4. Bizibu ki ebiri mu nkyukakyuka zino?
b. Birungi ki ebiri mu nkyukakyuka zino?
c. Nsonga ki ezireseewo enkyukakyuka zino?
34
4.Bwe kiba nedda kakasa anti ddala tewali nkyukakyuka yonnamu (i) olulimi
oluganda
ii.Ennyambala
111.
Eby’obufumbo
5. Mpenda ki ze tusobola okutema okutaasa ebyobuwangwa by’Abaganda?
Weebale nnyo
35
EBIBUUZO ERI ABAYIZI
Ssebo/Nnyabo,
Ebibuuzo bino bigenderera okwekennenya enkyukakyuka mu byobuwangwa
by’ Abaganda.N’ obuwombeefu osabibwa okubiddamu awatali kutya
kwonna.Ebinaddibwamu bijja kutwalibwa nga bya kyama.
N.B/WET: kozesa akabonero
Okweroboza
1. Ndi mu kibiina kya?
i. Ekisooka
ii. kyokuna
iii. Ekyokutaano
iv. Ekyomukaaga
b. Emyaka nnina?
i. 14-16
ii. 17-19
iii. Okusingawo
2. Watandika ddi okusoma olulimi oluganda?
b. Ani ayakusikiriza okusoma olulimi oluganda?
Omusomesa wa pulayimale.
i. Kitange
ii. Mmange
iii. Nze kennyini
iv. Mukwano gwange
36
v. Jjajange
3. Ebyobuwangwa kyeki~.
b. Birina migaso ki mu ggwanga9
4. Waliwo enkyukakyuka yonna mu byobuwangwa bino,
i. Olulimi
ii. Ennyambala
iii. Eby’obufurnbo
i. Yee
ii. Nedda
Bwe kiba yee laga enkyukakyuka zino
i. Olulimi
ii. Ennyambala
iii. Eby’ obufumbo
5. Bizibu ki ebiri mu nkyukakyuka zino7
b.Birungi ki ebiri mu nkyukakyuka zino7
c. Nsonga ki ezireseewo enkyukakyuka zino
37